Proverbs 11

1 aMinzaani eteri ya mazima ya muzizo eri Mukama,
naye ebipimo ebituufu bye bimusanyusa.

2 bAmalala bwe gajja, ng’obuswavu butuuse,
naye obwetoowaze buleeta amagezi.

3 cObwesimbu bw’abatuukirivu bubaluŋŋamya,
naye enkwe z’abatali beesigwa zibazikirizisa.

4 dObugagga tebugasa ku lunaku olw’okusalirwako omusango,
naye obutuukirivu buwonya okufa.

5 eObutuukirivu bw’abalongoofu bubatambuliza mu kkubo eggolokofu
naye abakozi b’ebibi bagwa olw’ebikolwa byabwe ebibi.

6Obutuukirivu bw’abagolokofu bubawonya,
naye abatali beesigwa bagwa mu mutego olw’okwegomba ebibi.

7 fOmukozi w’ebibi bw’afa, essuubi lye libula,
ne byonna bye yasuubira mu maanyi bikoma.

8 gOmutuukirivu aggyibwa mu mitawaana,
naye jjijjira omukozi w’ebibi.

9Akamwa k’oyo atatya Katonda, kazikiriza muliraanwa,
naye olw’okumanya, abatuukirivu bawona.

10 hAbatuukirivu bwe bakulaakulana ekibuga kijaguza;
abakozi b’ebibi bwe bazikirira wawulirwawo amaloboozi ag’essanyu.

11 iOmukisa gw’abatuukirivu gukulaakulanya ekibuga:
naye olw’akamwa k’abakozi b’ebibi, ekibuga kizikirizibwa.

Abeesigwa n’Abatambuza Eŋŋambo


12 jOmuntu atalina magezi anyooma muliraanwa we,
naye omuntu ategeera akuuma olulimi lwe.

13 kAseetula olugambo atta obwesigwa,
naye omuntu omwesigwa akuuma ekyama.

14 lAwatali kuluŋŋamizibwa eggwanga lidobonkana,
naye abawi b’amagezi abangi baleeta obuwanguzi.

15 mEyeeyimirira omuntu gw’atamanyiko alibonaabona,
naye oyo akyawa okweyimirira aliba bulungi.

16 nOmukazi ow’ekisa aweebwa ekitiibwa,
naye abasajja ab’amawaggali bakoma ku bugagga bwokka.

17Omusajja alina ekisa aganyulwa,
naye alina ettima yeereetako akabi.

18 oOmukozi w’ebibi afuna empeera ey’obukuusa,
naye oyo asiga eby’obutuukirivu akungula empeera eya nnama ddala.

19Omuntu omutuukirivu ddala alifuna obulamu,
naye oyo akola ebitali bya butuukirivu alifa.

20 p Mukama akyawa abantu abalina emitima emikyamu,
naye ab’amakubo amagolokofu be bamusanyusa.

21 qMutegeerere ddala ng’abakozi b’ebibi tebalirema kubonerezebwa,
naye bazzukulu b’abatuukirivu tebalibaako musango.

22Ng’empeta ya zaabu mu nnyindo y’embizzi,
bw’atyo bw’abeera omukazi omulungi atalaba njawulo wakati w’ekirungi n’ekibi.

23Abatuukirivu bye beegomba bivaamu birungi byereere,
naye abakozi b’ebibi bye bakola bisunguwaza.

Omuntu Omugabi


24Omuntu agaba obuteerekereza, yeeyongera bweyongezi kugaggawala;
naye akwatirira kye yandigabye, yeeyongera kwavuwala.

25 rOmuntu agaba anagaggawalanga,
n’oyo ayamba talibulako amuyamba.

26Abantu bakolimira oyo akweka eŋŋaano mu kiseera eky’obwetaavu,
naye oyo agitunda mu kiseera ekyo afuna emikisa.

27 sOyo anyiikira okukola obulungi afuna okuganja,
naye oyo anoonya ekibi, kimujjira.

28 tOyo eyeesiga obugagga bwe aligwa,
naye abatuukirivu banaakulaakulananga ne baba ng’amalagala amalamu.

29 uOmuntu aleeta emitawaana mu maka g’ewaabwe, alisikira mpewo;
era n’omusirusiru aliba muddu w’oyo alina omutima ogw’amagezi.

30 vEkibala ky’omutuukirivu muti gwa bulamu,
era n’oyo asikiriza emyoyo gy’abantu ne balokoka wa magezi.

31 wObanga omutuukirivu alifuna ekimusaanidde ku nsi kuno,
oyo atatya Katonda n’omwonoonyi balirema obutafuna ekibasaanidde?
Copyright information for LugEEEE